Nehemiah 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira n'agulumiza Omukama Katonda omukulu; abantu bonna ne baanukula nti: “Amiina, amiina,” nga basitulira waggulu emikono gyabwe. Ne bavunnama, ne basinza Katonda amaaso gaabwe nga gatuuse ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezera n'agamba nti: “Mukama Katonda atenderezebwe, kubanga mukulu!” Awo abantu bonna ne baddamu nti: “Weewaawo, weewaawo,” nga bawanika emikono gyabwe. Ne bavuunama ne basinza Mukama, ng'emitwe gyabwe gikoona ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe: ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe.