Nehemiah 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo Abaleevi: Yeswa, Bani, Serebiya, Yamini Akkubu, Sabbetayi, Odiya, Maaseeya, Kelita, Azariya, Yozabadi, Kanani ne Pelaaya baali bannyonnyola abantu Etteeka; bo abantu baali bayimiridde mu bifo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesuwa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akkubu, ne Sabbesayi, ne Kodiya, ne Masseya, ne Kerita, ne Azaliya, ne Yozabadi, ne Kanani ne Peraya, Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka, abantu nga bayimiridde mu bifo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Yesuwa, Baani, Serebiya, Yamini, Akkubu, Sabbesayi, Kodiya, Masseya, Kerita, Azaliya, Yozabadi, Kanani, Peraya n'Abaleevi ne bayamba abantu okutegeera amateeka, abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu ne bayimirira mu bifo byabwe, Yeswa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akubu, ne Sabbetaayi, ne Hodiya, ne Maaseya, ne Kelita, ne Azariya, ne Yozabadi, ne Hanani, ne Pelaya, n'Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yesuwa ne Baani ne Serebiya ne Yamini ne Akkubu ne Sabbesayi ne Kodiya ne Masseya ne Kerita ne Azaliya ne Yozabadi ne Kanani ne Peraya n'Abaleevi ne bategeeza abantu amateeka: abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe.