Nehemiah 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nekemiya owessaza, Ezira kabona era omuwandiisi n'Abaleevi abaali bayigiriza abantu ne bagamba abantu bonna nti: “Olunaku luno lutukuvu ku lw'Omukama Katonda waffe. Muleke kunakuwala yadde okukaaba.” Anti abantu bonna baali mu maziga nga bawuliriza ebigambo by'Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nekkemiya omufuzi ne Ezera kabona era omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga.” Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bwe baawulira Amateeka bye galagira okukola, ne bakaaba amaziga. Awo Nehemiya Omufuzi, ne Ezera kabona, era omunnyonnyozi w'Amateeka, n'Abaleevi abaayigirizanga abantu Amateeka, ne bagamba abantu bonna nti: “Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe. N'olwekyo muleme kunakuwala, wadde okukaaba amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nekkemiya Tirusaasa ne Ezera kabona omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga. Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka.