Nehemiah 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogwo Abayisirayeli baakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebikutiya, nga beeyiiridde n'enfuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi gwe gumu, Abayisirayiri ne bakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebibukutu era nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olw'abiri mu ennya (24) olw'omwezi guno abaana ba Isiraeri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogwo, Abayisirayeli ne bakuŋŋaana, ne basiiba era ne bambala ebikutiya, nga basaabye n'ettaka ku mitwe gyabwe, okulaga nga bwe banyoleddwa olw'ebibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi guno abaana ba Isirieri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka.