Nehemiah 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakolera Faraawo obubonero n'ebyamagero, n'eri abakungu be bonna n'abantu bonna ab'ensi eyo; kubanga wamanya bwe beekuzanga, ne weekolera erinnya erikyaliwo na kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waweereza obubonero obwewuunyisa n’ebyamagero eri Falaawo, n’eri abakungu be, n’eri abantu be bonna ab’ensi ye, kubanga wamanya engeri Abayisirayiri gye baajoogebwamu. Weekolera erinnya eryayatiikirira, n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wakola ebyewuunyo n'ebyamagero ku kabaka w'e Misiri, ku bakungu be bonna ne ku bantu b'omu nsi ye, kubanga wamanya bwe baabonyaabonya bajjajjaffe. Ne weefunira ettutumu erikutenza ne leero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero.