Nehemiah 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyanja wagyabuluzaamu mu maaso gaabwe, ne basomokera ku ttaka ekkalu; naye abaabawondera wabasulinka mu ddubi, ng'ejjinja mu mazzi amangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayawula mu mazzi g’ennyanja n’ogalaza ebbali n’ebbali mu maaso gaabwe, ne bayita wakati mu y’oku lukalu, naye abaali babagoberera wabazaaya mu buziba, ng’ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja nga abayita ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyanja wagitemamu wabiri nga balaba n'agaabwe, ne batambulira awakalu okugiyitamu wakati. Abo abaabawondera n'obakasuka ebuziba, ng'ejjinja erikasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.