Nehemiah 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emisana wabakulemberanga n'empagi ey'ekire ate ekiro n'empagi ey'omuliro, okubamulisiza ekkubo mwe banaayita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emisana wakulemberanga abantu bo n’empagi ey’ekire, era n’ekiro wabakulemberanga n’empagi ey’omuliro okubamulisiza ekkubo lye baali bateekwa okukwata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate n'obaluŋŋamya ng'oyima mu mpagi ey'ekire emisana; era ng'oyima mu mpagi ey'omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabakulembezanga empagi ey'ekire emisana, ekiro n'obakulembezanga empagi ey'omuliro obamulisize ekkubo lye baba bayitamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate n'obaluŋŋamya ng'oyima mu mpagi ey'ekire emisana; era ng'oyima mu mpagi ey'omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu.