Nehemiah 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wakka ne ku lusozi Sinayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu; wabawa ennamula ennuŋŋamu, enkola entuufu, amateeka n'ebiragiro ebirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Wava mu ggulu, n’okka ku Lusozi Sinaayi n’oyogera gye bali. Wabawa ebiragiro eby’obwenkanya, n’amateeka ag’amazima, byonna nga birungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag'amazima, ebyabakuutirwa ebirungi n'ebiragiro;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wava mu ggulu n'okka ku lusozi Sinaayi n'oyogera nabo, n'obawa ensala entuufu, Amateeka ag'amazima, ebibuuliriro ebirungi era n'ebiragiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu; n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag’amazima, ebyakuutirwa ebirungi n'ebiragiro: