Nehemiah 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nga bayala, wabawa omugaati oguva mu ggulu, nga bayonta, wabaggyira amazzi mu lwazi; n'obagamba bayingire ensi bagirye, gye walayira nti oligibawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baalumwa enjala wabawa emmere okuva mu ggulu, ne bwe baalumwa ennyonta n’obawa amazzi okuva mu lwazi; n’obagamba bagende balye ensi gye wabalayiririra.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'obawanga emmere eyava mu ggulu olw'enjala yaabwe, n'obaggira amazzi mu lwazi olw'ennyonta yaabwe, n'obalagira bayingire okulya ensi gye wasuubiza okubawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe baalumwa enjala, wabawa emmere eyava mu ggulu. Bwe baalumwa ennyonta, n'obawa amazzi agaava mu lwazi. N'obalagira bagende beefuge ensi, gye wabasuubiza okubawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obawanga emmere eyava mu ggulu olw'enjala yaabwe, n'obaggira amazzi mu lwazi olw'ennyonta yaabwe, n'obalagira bayingire okulya ensi gye wayimusiza omukono gwo okubawa.