Nehemiah 9:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baagaana okuwulira, tebajjukira byewuunyisa bye wali obakoledde. Baakakanyaza ensingo zaabwe ne bakyusa ebirowoozo byabwe, baddeyo mu buddu bwabwe mu Misiri. Naye kubanga oli Katonda addiramu, omusaasizi, ow'ekisa, atasunguwala mangu, ajjudde okwagala, tewabalekerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baagaana okukuwuliriza, ne batassaayo mwoyo okujjukira ebyamagero bye wakolera mu bo. Baakakanyaza ensingo zaabwe, era mu bujeemu bwabwe ne balonda omukulembeze okuddayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe Katonda asonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala, tewabaleka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bagaana okugonda, so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne beerondera omukulembeze nga bajeemye okubazzaayo mu buddu bwabwe; naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baagaana okukuwulira, era beerabira ebyamagero bye wakola mu bo. Olw'okwekulumbaza kwabwe, bajeema, ne beerondera omukulembeze okubazzaayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe oli Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa. Oli wa kisa, era ojjudde okusaasira. Olwawo okusunguwala, era okwatirwa nnyo ekisa, era tewabalekulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bagaana okugonda so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bassaawo omwami nga bajeemye okuddayo mu buddu bwabwe: naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka.