Nehemiah 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne bwe beekolera akayana akasaanuuse, ne bagamba nti: ‘Ono ye Katonda wo, eyakuggyayo mu Misiri,’ ne bwe baavuma Katonda ebivumo ebinene,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe beebumbira ennyana ensanuuse ne boogera nti, ‘Ono ye katonda wammwe eyabaggya mu Misiri,’ ne bakola n’ebitasaana bingi, mu kusaasira kwo okungi tewabaleka mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti, ‘Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri,’ era nga bakoze ebivvoola ennyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wadde beekolera ekifaananyi eky'ennyana ekisaanuuse, ne bagamba nti ye Katonda waabwe, eyabaggya e Misiri, nga bakoze ebivvoola ennyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri, era nga bakoze ebinyiiza ennyo;