Nehemiah 9:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye ggwe, mu kisa kyo ekingi, tewabaabulira mu ddungu. Empagi ey'ekire teyabavaako, okubalaga ekkubo emisana; n'empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza ekkubo mwe banaayita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Emisana, empagi ey’ekire teyalekerawo kubaluŋŋamya mu kkubo lyabwe, newaakubadde ekiro, empagi ey’omuliro nayo teyalekerawo kubaakira mu kkubo lye baali bateekwa okukwata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ggwe olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobaleka mu ddungu, empagi ey'ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza n'okubalaga ekkubo lye baba bayitamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye olw'okusaasira kwo okungi, tewabalekulira nga bali mu ddungu. Tewabaggyaako mpagi ya kire, ebaluŋŋamya emisana, wadde empagi ey'omuliro ebamulisiza ekkubo ekiro, ekkubo lye baba bayitamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ggwe olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobaleka mu ddungu: empagi ey'ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza n'okubalaga ekkubo lye baba bayitamu.