Nehemiah 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'endyo za Yisirayeli baali beeyawudde ku b'amawanga bonna; baayimirira ne bayatula ensobi zaabwe n'ebyonoono bya bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’ezzadde lya Isirayiri beeyawula ku bannamawanga bonna, ne bayimirira mu bifo byabwe ne baatula ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula okuva mu bannamawanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali beeyawudde ku b'amawanga amalala, ne bayimirira okwatula ebibi byabwe n'ebya bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula mu bannaggwanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.