Nehemiah 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wawa Mwoyo wo omulungi abayigirize, tewaggya manu mu kamwa kaabwe, n'obawa n'amazzi okuloga ennyonta yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabawa Omwoyo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu okulya, era wabawanga n’amazzi okumalawo ennyonta yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga maanu yo mu kamwa kaabwe, n'obawa amazzi olw'ennyonta yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabawa omwoyo gwo omulungi okubaluŋŋamya. Tewabaggyaako mannu yo gye baalya, wabawa n'amazzi banywe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu yo mu kamwa kaabwe, n'obawa amazzi olw'ennyonta yaabwe.