Nehemiah 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka ana ng'obagabirira mu ddungu, ne batabaako kye bajula; ebyambalo byabwe tebyabayulikako, n'ebigere byabwe tebyazimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabalabirira okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwa kintu, so n’engoye zaabwe tezaayulika newaakubadde ebigere byabwe okuzimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, wabaliisiza emyaka ana (40) mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n'ebigere byabwe tebyazimbanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabalabirira mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, nga tebaliiko kye bajula. Tebaayambala ngoye njulifu, wadde okuzimba ebigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, wabaliisiza emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n'ebigere byabwe tebyazimbanga.