Nehemiah 9:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana baabwe n'obayaza ng'emmunyeenye z'eggulu; n'obaleeta mu nsi, gye wasuubiza bajjajjaabwe, nti baligiyingira ne bagirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayaza abazzukulu baabwe ne baba bangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, n’obaleeta mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagirye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abaana baabwe wabaaza ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wayaza abaana baabwe ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, n'obatuusa mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagyefuge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abaana baabwe wabaaza ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya.