Nehemiah 9:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana baabwe bajja ne balya ensi; mu maaso gaabwe n'otoowaza Abakanaani abaabeerangamu, bo ne bakabaka baabwe n'abantu b'omu nsi, n'obabawa mu mikono gyabwe babakole nga bwe baagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu baabwe baayingira ne balya ensi, ne bawangula Abakanani abaabeeranga mu nsi, n’obawaayo mu mikono gyabwe wamu ne bakabaka baabwe, n’abantu b’ensi zaabwe ne babakola nga bwe baagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu baabwe ne bayingira ne beefuga ensi eyo. Wabawangulira abatuuze baamu Abakanaani. Bo ne bakabaka baabwe n'obassa mu mikono gy'abantu bo babakole nga bwe baagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala.