Nehemiah 9:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bawamba ebibuga okuli ebigo n'ensi engimu; ne beefunira ennyumba ezijjude buli kirungi, enzizi abalala ze baasima, n'enkumu y'emizabbibu, oliva, n'emiti egy'ebibala. Baalya, ne bakkuta, ne bagejja, ne basanyukira mu bulungi bwo obw'ekitalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baawamba ebibuga ebyaliko bbugwe n’ensi enjimu, ne batwala amayumba agaali gajudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri, enzizi ezasimibwa edda, n’ennimiro ez’emizabbibu, n’ennimiro ez’emizeeyituuni, n’emiti egy’ebibala mingi nnyo. Baalya ne bakkuta era ne banyirira, n’okubasanyusa n’obasanyusanga olw’obulungi bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawamba ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne batwala ennyumba ezajjula ebirungi byonna, n'enzizi ezisimiddwa, ensuku ez'emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo; awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bo baawamba ebibuga ebiriko ebigo, n'ensi engimu, n'ennyumba ezijjudde ebyobugagga, n'enzizi ezisimiddwa, n'ennimiro ez'emizabbibu n'ez'emiti emizayiti, n'ez'emiti mingi nnyo egy'ebibala. Ne balya ne bakkuta, ne basanyukira ebirungi ebingi bye wabawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamenya ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne balya ennyumba ezajjula ebirungi byonna, ebidiba ebyabajjibwa, ensuku ez'e emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo: awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi.