Nehemiah 9:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kubawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, ne bababonyaabonya. Naye nga bali mu buyinike baakoowoola gy'oli; ng'oyima mu ggulu wabawulira, mu kisa kyo ekinene n'obawa abanunuzi, abaabawonya mu mikono gy'abalabe baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyewava obawaayo eri abalabe baabwe ne bababonyaabonya. Naye nga babonaabona bwe batyo, ne bakukaabirira, n’obawulira okuva mu ggulu, n’olw’okusaasira kwo okungi ennyo n’obaweereza abaabanunula era abaabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye wava obagabulanga mu mukono gw'abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga, kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n'obawuliranga ng'oyima mu ggulu; era ng'okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n'obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kyewava obawaayo mu balabe baabwe ne bababonyaabonya. Mu kubonaabona kwabwe baakukaabirira, n'obawulira ng'osinziira mu ggulu. Olw'okusaasira kwo okungi n'obaweereza abanunuzi abaabawonya abalabe baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyewava obagabulanga mu mukono gw'abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga: kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n'obawuliranga ng'oyima mu ggulu; era ng'okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n'obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe.