Nehemiah 9:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olwabanga okuweerako ne baddamu okukola ebikyamu mu maaso go; era n'obawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, ne babafuga. Nate ne bakuwanjagiranga, n'owulira ng'oyima mu ggulu, mu kisa kyo n'obanunula emirundi n'emirundi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye bwe baafunanga emirembe, baddangamu okukola ebibi mu maaso go. Kyewava obawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, babafuge. Bwe baakukaabiriranga nate, ng’obawulira okuva mu ggulu, n’obalokolanga emirundi mingi ng’okusaasira kwo bwe kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go, kye wava obalekanga mu mukono gw'abalabe baabwe n'okufuga ne babafuga; naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n'owulira, ng'osinziira mu ggulu; n'obawonyanga emirundi mingi ng'okusaasira kwo bwe kwali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe baafuna emirembe, ne baddamu okwonoona. Era n'obawaayo mu balabe baabwe ne babafuga. Bwe beenenyanga ne bakukaabirira obawonye, n'obawulira ng'osinziira mu ggulu, n'obanunula emirundi mingi olw'ekisa kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go: kyewava obalekanga mu mukono gw'abalabe baabwe n'okufuga ne babafuga: naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n'owulira, ng'oyima mu ggulu; n'obawonyanga emirundi mingi ng'okusaasira kwo bwe kwali;