Nehemiah 9:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabalabulanga badde ku Tteeka lyo; bbo baayongera kwekuza ne batawulira biragiro byo, ne boonoona eri ennamula yo, sso ng'omuntu abituusa aliba mulamu olw'okubeera byo; ne bakukuba amabega nga bakola emputtu, ne bakakanyaza ensingo ne batakuwuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Wabalabula okuddamu okugoberera amateeka go, naye ne baba b’amalala, ne batagondera biragiro byo. Baajeemera ebiragiro, ebireetera omuntu obulamu bw’aba ng’abigondedde. Baakunyooma ne bakuvaako, ne bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go. Naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, so nga omuntu bw'agikola anaabanga mulamu gyo ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabalabula obakomyewo ku Mateeka go. Naye olw'okwekulumbaza kwabwe, ne batawulira biragiro byo, wabula ne babimenya bumenyi, sso nga mu kubituukiriza, omuntu mw'afunira obulamu. Ne bakubayo amabega, ne bakakanyalira ddala, ne bagaana okuwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go: naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, (egyo omuntu bw'agikola, anaabanga mulamu mu gyo,) ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira.