Nehemiah 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu ng'ayimiridde mu kifo kye, baasoma mu kitabo ky'Etteeka ly'Omukama Katonda waabwe okumala ekitundu ekyokuna eky'olunaku, ate ekitundu ekyokuna ekirala ne bakimala nga beenenya ensobi n'okusinza Omukama Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayimirira we baali ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu, n’oluvannyuma ne baatula era ne basinza Mukama Katonda waabwe okumala essaawa endala nga ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe okumala ekitundu ekyokuna eky'olunaku; n'ekitundu ekyokuna ekirala ne bakimala nga baatula ebibi byabwe, era ne basinza Mukama Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bayimiridde mu bifo byabwe ne basoma mu kitabo ky'Amateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu. Ate essaawa essatu ezaddirira, ne bazimala nga baatula ebibi byabwe, era nga basinza Mukama Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe ne bamala ekitundu ky'olunaku eky'okuna; n'ekitundu eky'okuna ekirala ne baatula, ne basinza Mukama Katonda waabwe.