Nehemiah 9:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'obagumiikiriza emyaka nkumu, n'obabuulirira ne Mwoyo wo, ng'oyita mu balanzi bo, naye ne batawulira; kwe kubawaayo mu mikono gy'abantu b'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabagumiikiriza okumala emyaka mingi, Omwoyo wo n’abayigirizanga ng’ayita mu bannabbi bo, naye ne batassaayo mwoyo, kyewava obawaayo mu mukono gw’abamawanga agabaliraanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo; naye ne batayagalanga kutega kutu. Olw'ekyo kye wava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wamala emyaka mingi ng'obagumiikiriza, n'obalabulanga ne Mwoyo wo, ayogerera mu balanzi; kyokka ne baziba amatu, kyewava obawaayo mu b'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kyewava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omunsi.