Nehemiah 9:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu kisa kyo ekingi ennyo tewabazikiririza ddala, era tewabalekerera; kubanga oli Katonda wa kisa, musaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’okusaasira kwo okungi, tewabaviirako ddala so tewabaleka, kubanga oli Katonda ow’ekisa era ajjudde okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow'okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'ekisa kyo ekingi, tewabazikiriza wadde okubaabulira, kubanga oli Katonda ow'ekisa era omusaasizi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow'okusaasira.