Nehemiah 9:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno, ayi Katonda waffe, omukulu, omuzira, ow'entiisa, akuuma endagaano n'ekisa, togayaalirira bizibu bino byonna bitutuukiridde ffe ne bakabaka baffe n'abaami baffe, bakabona baffe n'abalanzi baffe, bajjajjaffe n'abantu bo bonna, okuva mu budde bwa bakabaka ba Assuri n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno, Ayi Katonda waffe, omukulu ow’ekitiibwa, Katonda ow’entiisa, akuuma endagaano ye ey’okwagala, toganya bizibu bino byonna kututuukako: ebizibu ebyatuuka ne ku bakabaka baffe, ne ku bakulembeze baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna okuva mu biro ebya bakabaka b’e Bwasuli n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno ayi Katonda waffe ggwe omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, okuuma endagaano, era olina okwagala okutakoma. Okubonaabona kwonna okwatujjira ffe ne bakabaka baffe, n'abakungu baffe, ne bakabona baffe, n'abalanzi baffe, ne bajjajjaffe, n'abantu bo bonna okuviira ddala ku mirembe gya bakabaka ba Assiriya n'okutuusa kati, kuleme kukulabikira ng'akantu akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)