Nehemiah 9:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, wakati mu birungi enfaafa bye wabakolera, mu nsi engazi, engimu, gye wabawa, tebaakuweereza, tebaaleka makubo gaabwe mabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, nga basanyuka nnyo, mu nsi engazi era enjimu, tebaakuweerezanga newaakubadde okukyuka okuleka amakubo gaabwe amabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baagaana okukyuka, okuva mu bibi byabwe bakuweereze newaakubadde wabawa omukisa, mu bwakabaka bwabwe, ne babeera mu nsi engazi era engimu, ne mu birungi byonna bye wabawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebibi.