Nehemiah 9:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba tuutuno tuli baddu leero, mu nsi gye wawa bajjajjaffe, balye ebibala byamu n'ebirungi byayo, laba, mwe tuli ng'abaddu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, tuli baddu leero, abaddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okulya ebibala byamu n’ebirungi ebirala by’ereeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, tuli baddu leero, n'ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano tuli baddu, baddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okubeeramu, n'okulyanga ebibala byamu, n'ebirungi ebirala ebirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, tuli baddu leero, n'ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo.