Nehemiah 9:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ebibi byaffe, omwero gwayo guddira bakabaka be watussaako, bafuga emibiri gyaffe n'ebisolo byaffe nga bwe baagala, tuli mu buyinike bunene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’ebibi byaffe, ebikungulwa eby’ensi eyo ebingi bitwalibwa bakabaka be wassaawo okutufuga. Batufuga n’ente zaffe nga bwe baagala, era tuli mu nnaku nnyingi nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe; era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eyo ewa amagoba mangi bakabaka be wateekawo okutufuga kubanga twayonoona. Balina obuyinza okukola buli kye baagala ku ffe ne ku magana gaffe. Tulina obuyinike bungi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe: era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.