Nehemiah 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi Yeswa, Bani, Kadumiyeli, Sebaniya, Bunni, Serebiya, Bani ne Kenani baayimirira ku kadaala ne balaajanira Omukama Katonda waabwe mu ddoboozi eddene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be Baleevi abaali bayimiridde ku madaala: Yesuwa, ne Baani, ne Kadumyeri, ne Sebaniya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani ne Kenani, abaakoowoolanga Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi ery’omwanguka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesuwa, Baani, Kadumyeri, Sebaniya, Bunni, Serebiya, Baani ne Kenani, ne bayimirira ku madaala g'Abaleevi ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yeswa, ne Baani, ne Kadumyeli, ne Sebamiya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani, ne Kenani ne bayimirira ku madaala g'Abaleevi, ne bawanjagira Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi ery'omwanguka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wayimirira ku madaala g'Abaleevi Yesuwa ne Baani ne Kadumyeri ne Sebaniya ne Bunni ne Serebiya ne Baani ne Kenani, ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene.