Nehemiah 9:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi, Yeswa, Kadumiyeli, Bani, Kesabuneeya, Serebiya, Odiya, Sebaniya ne Petakiya ne bagamba nti: “Musituke, mugulumize Omukama Katonda wammwe, aliwo okuva ddi n'okutuusa ddi.” Ne baddamu nti: “Erinnya lyo ery'ekitiibwa ligulumizibwe; lisukkulumizibwe okusinga amatendo gonna n'okugulumizibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abaleevi, Yesuwa, ne Kadumyeri, ne Baani, ne Kasabuneya, ne Serebiya, ne Kodiya, ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti, “Muyimirire, mwebaze Mukama Katonda wammwe ow’emirembe n’emirembe.” “Erinnya lyo ligulumizibwe, litiibwe era ligulumizibwe okukira okusinza kwonna n’okutendereza kwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaleevi, Yesuwa, Kadumyeri, Baani, Kasabuneya, Serebiya, Kodiya, Sebaniya ne Pesakiya ne bagamba abantu nti, “Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe nga mugamba nti, ‘Okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna, erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa, okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza. ’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abaleevi: Yeswa, ne Kadumyeli, ne Baani, ne Asabuneya, ne Serebiya, ne Hodiya, ne Sebaniya, ne Petahiya ne bagamba abantu nti: “Musituke mutendereze Mukama Katonda wammwe, nga mugamba nti: Okuva ddi na ddi erinnya lyo eryekitiibwa erisukkulumye amatendo gonna, ligulumizibwe emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abaleevi, Yesuwa ne Kadumyeri ne Baani ne Kasabuneya ne Serebiya ne Kodiya ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna: era erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza.