Nehemiah 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Ezira n'agamba nti: “Wekka ggwe Mukama; watonda eggulu, n'eggulu erisukkulumye ddala, ne nnamunkukumbo waakwo, ensi na byonna ebigiriko, amayanja na byonna ebigalimu. Byonna obiwa obulamu, ne nnamunkukumbo w'eggulu akusinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, n’eggulu erya waggulu, n’eggye lyalyo lyonna, n’ensi n’ebigirimu byonna, n’ennyanja n’ebigirimu byonna. Buli kintu gw’okiwa obulamu, era n’eggye ery’omu ggulu likusinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n'eggye lyalyo lyonna, ensi n'ebintu byonna ebiri omwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n'eggye ery'omu ggulu likusinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ggwe Mukama wekka. Ggwe watonda eggulu n'ebiri wa ggulu mu bbanga. Ggwe watonda olukalu n'ennyanja n'ebibirimu byonna, era ggwe obikuuma byonna. Eby'omu ggulu ggwe bisinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n'eggye lyalyo lyonna, ensi n'ebintu byonna ebiri okwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n'eggye ery'omu ggulu likusinza.