Nehemiah 9:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wasanga omutima gwe mwesigwa mu maaso go, n'okola naye endagaano, ng'oli wa kuwa ezzadde lye ensi y'Abakanaani, Abakitti n'Abaamori, Abaperizzi, Abayebusi n'Abagirugasi. Watuukiriza ebigambo byo, kubanga oli mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Walaba omutima gwe nga mwesigwa gy’oli, n’okola naye endagaano, okuwa bazzukulu be ensi ey’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abayebusi, n’Abagirugaasi; era otuukiriza ekyo kye wasuubiza kubanga oli mutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n'olagaana naye endagaano okuwa ezzadde lye ensi ey'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omuyebusi, n'Omugirugaasi; era n'otuukirizza ebigambo byo; kubanga ggwe mutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walaba omutima gwe, nga mwesigwa gy'oli n'okola naye endagaano. N'omusuubiza okumuwa ensi y'Abakanaani ey'Abahiiti n'Abaamori, ensi y'Abaperezi ey'Abayebusi n'Abagirugaasi ebe ya bazzukulu be. Era n'okituukiriza, kuba oli mutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n'olagaana naye endagaano okuwa ensi ey'Omukanani n'Omukiiti n'Omwamoli n'Omuperizi n'Omuyebusi n'Omugirugaasi, okugiwa ezzadde lye, era otuukirizza ebigambo byo kubanga ggwe mutuukirivu.