Numbers 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bakuŋŋaanya abantu bonna ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwokubiri. Abantu ne bawandiisa endyo zaabwe mu masiga gaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe, ate bo abasajja okuva ku w'emyaka abiri n'okusingawo amannya gaabwe ne gawadiikibwa buli omu kinnoomu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwokubiri, ne baatula obuzaale bwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bakuŋŋaanya abantu bonna ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokubiri. Abantu ne boogera obuzaale bwabwe, nga balaga ensibuko zaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe. Abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, ne bawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, ne baatula okuzaalibwa kwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali.