Numbers 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bazzukulu ba Rubeni omuggulanda wa Yisirayeli: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe buli omu kinnoomu mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Rewubeeni, omuggulanda wa Yisirayeli, abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya, kinnoomu, okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;