Numbers 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ne Aroni mujja kubala nga mugoba ebibinja byabwe abo bonna mu Yisirayeli abasobola okutabaala, nga muva ku w'emyaka abiri n'okusingawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe ne Alooni mujja kubala abasajja bonna mu Isiraeri abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, abasobola okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe ne Arooni mujja kubala abasajja bonna mu Yisirayeli abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri, ggwe ne Alooni mulibabala ng'eggye lyabwe bwe liri.