Numbers 1:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bazzukulu ba Yozefu: okuva mu bazzukulu ba Efurayimu: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu batabani ba Yusufu: Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu baana ba Yusufu; okuva mu Efulayimu ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu basibuka mu Yosefu: ab'omu Kika kya Efurayimu, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku baana ba Yusufu, ku baana ba Efulayimu, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;