Numbers 1:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bazzukulu ba Aseeri: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu bazzukulu ba Aseri: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Aseri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Aseri, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku baana ba Aseri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;