Numbers 1:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja bonna Abayisirayeli abaali basobola okugenda okutabaala abawezezza emyaka abiri n'okusingawo baabalibwa mu nnyumba za bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala mu Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala mu ggye lya Yisirayeli, abaabalibwa okusinziira ku buzaale bwabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri; ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala mu Isiraeri;