Numbers 1:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula bo basse ku kulabirira Ekisulo eky'Endagaano, byonna ebyamu na buli kyonna ekidda ku Kisulo. Bo bennyini be banaasitulanga Ekisulo na byonna ebyamu; be banaakirabiriranga, era bajja kusimbanga weema zaabwe okwetooloola Ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye Abaleevi obafuule abakulu b'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era ab'ebintu byayo byonna ebigenderako. Banaasitulanga Eweema, n'ebintu byayo byonna; era be banaabanga abaweereza mu yo, era banaasiisiranga okugyetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Abaleevi bawe omulimu ogw'okulabiriranga Weema ey'Okunsisinkanirangamu, era n'okulabiriranga ebintu byayo byonna, ne byonna ebigigenderako. Banaagisitulanga n'ebintu byayo byonna, era be banaabanga abaweereza baayo, era banaasiisiranga okugyetooloola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Abaleevi obafuule abakulu b'ennyumba ey'obujulirwa, era ab'ebintu byayo byonna, era ab'ebintu byonna ebigenderako: banaasitulanga ennyumba, n'ebintu byayo byonna; era banaagiweerezanga, era baanasiisiranga okwetooloola ennyumba.