Numbers 1:51 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisulo bwe kinaatuukanga okusitula, Abaleevi be banaakimenyanga; ate bwe kinaatuukanga okusimba, be banaakisimbanga. Omuntu owa bulijjo anaakisembereranga wa kuttibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Eweema bw'eneebanga egenda okutambuzibwa, Abaleevi be banaagisimbulanga; era bw'eneebanga esimbibwa, be banaagisimbanga. Munnaggwanga anaagisembereranga anattibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lwe munaabanga musengula olusiisira, Abaleevi be banaasimbulanga Weema. Era bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga. Atali Muleevi anaagisembereranga, anattibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ennyumba bw'eneebanga etambula, Abaleevi be banaagisimbulanga: era ennyumba bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga: era munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.