Numbers 1:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli banaasiisiranga buli omu mu kibinja kye, ku bendera ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe, buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli abalala, banaasimbanga eweema zaabwe, buli omu mu lusiisira lwe, ne mu kibinja kye, awali bbendera ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe; buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri.