Numbers 1:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo Abaleevi weema ba kuzisimba okwetooloola Ekisulo eky'Endagaano, obusungu buleme kugwira Bayisirayeli. Bo Abaleevi ba kulabiriranga Kisulo eky'Endagaano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Eweema ey'okusisinkanirangamu, abaana ba Isiraeri baleme okusunguwalirwa; era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma Eweema.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Weema ey'Okunsisinkanirangamu, ekibiina ky'Abayisirayeli kireme kusunguwalirwa. Era Abaleevi be banaabeeranga n'obuvunaanyizibwa ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola ennyumba ey'obujulirwa, walemenga okuba obusungu ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri: era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ey'obujulirwa.