Numbers 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Abayisirayeli ne basitula nga bali mu bibinja byabwe, ne bava mu ddungu ly'e Sinayi, ne bagenda nga bwe batambula. Ekire ne kiyimirira mu ddungu ly'e Parani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne batandika olugendo lwabwe olwabaggya mu Ddungu ly'e Sinaayi, ne batambulira mu bibinja byabwe. Ekire ne kiyimirira mu Ddungu ly'e Parani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani.