Numbers 10:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo gwe mulundi ogwasooka okusitula, nga bakola ng'Omukama bwe yali abalagidde ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batandika okutambula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali kye yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batandika okutambula, nga Mukama bwe yabalagira ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basooka okusitula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.