Numbers 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibinja by'olusiisira lw'abazzukulu ba Yuda ku bendera yaabwe be baasooka okusitula; baali baduumirwa Nakusoni mutabani wa Amminadabu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Yuda ne bakulemberamu, nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda, yali Nahusooni mutabani wa Amminadabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.