Numbers 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Weekolere eŋŋombe bbiri mu ffeeza omukubeekube, z'oneeyambanga okuyita abantu bakuŋŋaane era n'okulagira olusiisira okusitula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Weeweeseze amakkondeere abiri ga ffeeza; ganaabanga ga kuyita kibiina, era n'okutambuza olusiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kola amakondeere abiri aga ffeeza, ogaweese, ogakozesenga okuyita abantu okukuŋŋaana, n'okubalagira okuva mu lusiisira okutambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weekolere amakondeere abiri ga ffeeza; onoogakola n'omulimu omuweese: era ganaabanga gy'oli ga kuyita kibiina, era ga kutambuza nsiisira.