Numbers 10:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibinja by'olusiisira lw'abazzukulu ba Efurayimu ku bendera yaabwe ne baddako; baali baduumirwa Elisama mutabani wa Ammiwudi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku abo, ne kuddako aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Efurayimu, nga batambulira mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, yali Elisaama mutabani wa Ammihudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi,