Numbers 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gamalyeli mutabani wa Pedaasuri nga y'ali ku kibinja ky'ekika ky'abazzukulu ba Manasse;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibinja ky'ab'Ekika kya Manasse, kyali kikulirwa Gamaliyeeli, mutabani wa Pedazuuri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.