Numbers 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasembayo n'ebendera yaabwe be b'ebibinja by'olusiisira lw'abazzukulu ba Daani, ng'eggye eriva ennyuma; baali baduumirwa Akiyezeri mutabani wa Ammisaddayi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembangayo mu ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Daani, abaakooberanga ebibinja byonna, ne balyoka batandika okutambula nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, yali Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembanga ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.