Numbers 10:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe batyo Abayisirayeli bwe baddiriŋŋananga mu bibinja byabwe nga batambula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali nga batambula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo ye ngeri ebibinja Abayisirayeli bye baatambulirangamu gye byaddiriŋŋananga, bwe baabanga bava mu lusiisira olumu okudda mu lulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali; ne basitula.